Kisala Okusinga Ekitala Eky’obwogi Obubiri;
Obubaka Obw’enjawulo Okuva ewa Andrew Wommack:
Kisala Okusinga Ekitala Eky’obwogi Obubiri; Kino kitabo ekikuŋŋanyiziddwa mu bufunze okuva mu masomo kkumi na mukaaga agalimu okubikkulirwa okukulu ennyo Mukama kwampadde era nga ge gasinga okusabibwa abantu. Bangi batuuse n’okukiyita omusingi gw’obubaka bwe mbuulira. Buli ssuula mu kitabo kino erina omulamwa gw’eyogerako mu bufunze, kino kikwanguyiza okulaba amazima gano agali mu buli ssuula nga bwe gakwataganamu ate ng’agesigamye ku gannaago.